AKULIRA BODA BODA MU UGANDA  FRANK MAWENJE AGGUDDEWO OFIISI YA UNION EMPYA EKANYANYA MUKAWEMPE DIVIZONI

Bya Mugula Dan

Ofiisi eno etuumiddwa Boda Boda UNION .Ezimbiddwa okuyamba aba Boda Boda okubera n’obumu okutusa ensonga zabwe eri bekikwatako nga waliwo kyebemulugunya ekikwata n’omulimugwabwe .Essiddwaamu kompyuta n’bakozi abali ku ddaala erya waggulu mu BODA BODA okusomesa buli owa boda boda by’ayagala okumanya.

Frank Mawenje yategeezezza nti tewali wa BODA BODA  akkilizibwa kusasulira ssente mu offisi eno kuba zizimbiddwa kwanukula bwetaavu  bwa bavuzi ba BODA BODA bwe balina okumanya kubikwata kusonga za BODA BODA.

Abavuzi BODA BODA  bamaze ebbanga nga basattira nga beebuuza oba zigenda kukozesebwa kulondoola  nkola za musolo kyoka Mawenje  annyonnyodde abavuzi boda boda nti zaakubasomesa n’okukola ku bizibu bye bafuna mu mulimu guno ogwa boda boda era tewakyali nsonga lwaki owa boda boda bandibadde mugenda e kampala ku kitebe okwebuuza ku bikwata ku mulimu gwa boda boda ate nga buli kimu bakibasemberezza kumpi.Omukolo gw’okuggulawo offiisi  gwetabidwaako abakulembeze okuva ku poliisi banabyabufuzzi kosa nabavuzi ba bodaboda nabakulembeze ba LC MU kitundu ne basiima Frank Mawenje okubasembereza empeereza ne we bakolera.

Atwala poliisi yebiduuka  MU Kampala SP BK OINEBYE yasuubizza aba Boda Boda nti amaze ebbanga ng’abawuliriza mu nkiiko ez’enjawulo era yalagidde abasirikare bebiduuka bawulirize ate bayambe buli muvuzi wa BODA BODA